OKUBEERA N’OKUKKIRIZA | LEESONI 08 | HOPE LEESONI

Okukkiriza kwo kufaanana kutya olwa leero? Okukkiriza kwo mu Katonda kwali kubaddeko okuyabayaba? Mpozzi wali olabyeko ekintu kyonna ekyakusoomooza ennyo nga tomanyi na bw’oyinza kugenda mu maaso na nkolagana yo ne Katonda. Oba okukkiriza kwo kulinga ekimuli kya looza ekimera okuva mu kati aka kiragala ne kafuukamu akawakatirwa akasirikitu oluvannyuma akaanya ne kaleeta ekimuli ekinene, ekya langi ennungi ne kijjuza ekisenge n’akaloosa kaakyo akatayinza kwerabirwa?