Omukama wa Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru IV yenyamidde olwa sirimu eyeyongedde mu Tooro

Omukama wa Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru IV ayagala gav’t edduukirire abantu abaakosebwa mataba e Ntoroko. Ono era mwenyamivu olw’okusaasana kw’akawuka ka mukenenya akeyongedde mu Bukama bwa Tooro. Okwogera bino abadde agyaguza emikolo gy’e Mpango ogwa 29 mu Kikaali kye e Karuziika.