SSAPPULE Y'OMUSAAVI OGW'OMUWENDO OGWA YEZU KRISTU precious blood@Mary Victo Catholic Collections
SSAPPULE Y'OMUSAAVI OGW'OMUWENDO ENNVO OGWA YEZU KRISTU Essaala Eziggulawo [Tuyimirire] Mu linnya lya Patri... Oluyimba: Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu, Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu, Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu, Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu, Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo, nunula Ensi. Okukowoola Mwoyo Mutuukirivu: V/: Jjangu, Ayi Mwoyo Mutuukirivu , R: Jjuza emitima gy' Abakkiriza ogikumemu omuliro gw'okwagala Kwo. R/: Sindika Mwoyo Wo byonna bitondebwe, V/: N'ensi yonna ogitunuze buggya. Twegayirire: Ayi Katonda, Ggwe eyabangula emitima gy'Abakukkiriza ng'obatumira Mwoyo Omutuukirivu abatangaaze, naffe tuwe okutegeera mu Mwoyo Mutuukirivu Oyo, ebirungi bye tuteekwa okugoberera, n'okusanyuka ng'abadde atukubagizza; tukwegayiridde ku bwa Kristu Mukama Waffe. Amiina. era Nzikiriza Katonda... [Wano, Tunyweza Omusaalaba oguli ku Ssappule] [Vunnama i.e. Amaaso n'ennyindo bituukire ddala ku ttaka] "Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo/ Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu/Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu,/ Ekiggwa kya Magezi ga Katonda,/ Tabemakulo y' Okumanya kwa Katonda,/ era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi,/ Tubikkirire kati n'emirembe gyonna,/ Amiina." Kitaffe ali mu Ggulu... Mirembe Maria ... x3 Ekitiibwa kibe. "Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo/ Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu/Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu,/ Ekiggwa kya Magezi ga Katonda,/ Tabemakulo y'Okumanya kwa Katonda,/ era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi,/ Tubikkirire kati n'emirembe gyonna,/ Amiina." EKYAMAGERO EKISOOKA Tulowooze ku kukomerera kw'Omusumaali mu Mukono ogwa Ddyo ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu [Tusiriikirire mu kwebuulirira] Olw'Ekiwundu Eky Omuwendo Ennyo mu Mukono gwo ogwa Ddyo era olw'Obulumi Obw'Omusumaali ogwayuza Omukono gwo ogwa Ddyo, tusaba, Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogufukumuka nga guvaamu; Lokola Abonoonyi abali mu nsi yonna era kyusa emyoyo mingi gidde gy'oli mu bujjuvu. Amiina. V/: Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu, R/: Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu ennyo ogwa Yezu. Kitaffe ali mu Ggulu... Mirembe Maria ... [Ku mpeke enjeru] V/: Musaayi gw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu: R/: Tulokole wamu n'ensi yonna [x12] Ekitiibwa kibe ekya Patri... [Vunnama i.e. Amaaso n 'ennyindo bituukire ddala ku ttaka] "Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo/ Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu/Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu,/ Ekiggwa kya Magezi ga Katonda,/ Tabemakulo y'Okumanya kwa Katonda,/ era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi,/ Tubikkirire kati n'emirembe gyonna,/ Amiina." EKYAMAGERO EKYOKUBIRI Tulowooze ku kukomerera kw'Omusumaali mu Mukono ogwa Kkono ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu. Tusirikirire mu kwebuulirira] Olw'Ekiwundu eky'Omuwendo ennyo mu Mukono gwo ogwa Kkono era n'olw'Obulumi ow'Omusumaali ogwayuza Omukono Gwo ogwa Kkono, tukusaba, Omusaayi ogw'Omuwendo ennyo ogafukumuka nga guvaamu gununule emyoyo egiri mu Purgatoori era gutaase abo bonna abali mu kaseera ak'okufa, bawangule obulumbaganyi bw'emyoyo egiva mu Muliro Ogutazikira. Amiina. V: Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu, R: Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu ennyo ogwa Yezu. Kitaffe ali mu Ggulu... Mirembe Maria ... [Ku mpeke enjeru] V: Musaayi gw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu: R: Tulokole wamu n'ensi yonna [x12] Ekitiibwa kibe ekya Patri... (Vunnama i.e. Amaaso n 'ennyindo bituukire ddala ku ttaka] "Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo/ Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu/Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu,/ Ekiggwa kya Magezi ga Katonda,/ Tabernakulo y' Okumanya kwa Katonda./ era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi./ Tubikkirire kati n'emirembe gyonna,/ Amiina." EKYAMAGERO EKYOKUSATU Tulowooze ku kukomerera kw'Omusumaali mu Kigere ekya Ddyo ekya Mukama Waffe Yezu Kristu. [Tusiriikirire mu kwebuulirira] Olw'Ekiwundu Eky Omuwendo Ennyo mu Ekigere ekya Ddyo, era n'Olw'Obulumi obw'Omusumaali ogw'ayuza Ekigere Kyo ekya Ddyo, tusaba, Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogufukumuka nga guvaamu gubikke wonna Omusingi gwa Eklezia Katolika nga gugitaasa buli nteekateeka z'Obwakabaka w'ekizikiza n'abuli bantu ababi. Amiina. V: Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu, R: Wonya Ebiwundu ebiri mu Mutima Omutukuvu ennyo ogwa Yezu. Kitaffe ali mu Ggulu... Mirembe Maria ... [Ku mpeke enjeru] V/: Musaayi gw'Omuwendo Ennyo ogwa Yezu Kristu: R/: Tulokole wamu n'ensi yonna [x12] Ekitiibwa kibe ekya Patri... [Vunnama i.e. Amaaso n 'ennyindo bituukire ddala ku ttaka] "Ayi Omusaayi ogw'Omuwendo Ennyo/ Ogufukumuka nga guva mu Mutwe Omutukuvu/Ogwa Mukama Waffe Yezu Kristu,/ Ekiggwa kya Magezi ga Katonda,/ Tabemakulo y' Okumanya kwa Katonda,/ era Akasana akeememulira mu Ggulu ne ku nsi,/ Tubikkirire kati n'emirembe gyonna,/ Amiina." EKYAMAGERO EKYOKUNA Tulowooze ku kukomerera kw'Omusumaali mu Ekigere ekya Kkono ekya Mukama Waffe Yezu Kristu. [Tusiriikirire mu kwebuulirira]

SSAPULE EBIBONYOBONYO OMUSANVU EBYA BIKIRA MARIA MARY VICTO CATHOLIC COLLECTIONS

SSAPULE Y'OBUSAASIZI NE AMATENDO ENSOOMA @maryvictocatholiccollectio6404

AMATENDO G'OMUSAAYI GWA YEZU KRISTU precious blood Litany@maryvictocatholiccollectio6404

OMUSAAYI GWA YEZU-bukalango music

Amasengesho yo kugwiza ubutoni Umunsi wa 2️⃣6️⃣/3️⃣0️⃣ 6 PM

OMUTIMA OMUTUKUVU OGWA YEZU NOVENA NE AMATENDO SACRED HEART OF JESUS@maryvictocatholiccollectio6404

Brazil vs. Egypt | Full Game Highlights | ESPN FC

Trump Gets Booed & Falls Asleep During NBA Finals, Claims War is Almost Over & Goodbye Spencer Pratt

They Didn't Like Her Look, But Then She Sang Like a Star! 🤩

4 Hours Chopin for Studying, Concentration & Relaxation

'World Has Spoken': Germany Humiliated on Global Stage, UN Voting Crushes Berlin's AntiRussia Stance

SSAPUULE YE EBIBONYOBONYO OMUSANVU ENSOOMA MUBUJUVU @maryvictocatholiccollectio6404

SAPULE EBIKOLWA EBYE'SANYU ROSARY JOYFUL LUGANDA MARY VICTO CATHOLIC COLLECTIONS

SAPULE EY'OBUSAASIZI. (The Divine Mercy Chaplet)

Homenaje a la Virgen de la Almudena y Encuentro en el Bernabéu | Viaje Apostólico a España 🇪🇸

Time of Sacrifice and Mercy, Wednesday 06/10/2026

Gregorian Chants: Ave Maria | Holy Choir in Honor of Mary

ESSAALA SSAPULE EYOKUSABIRA EMYOYO EGIRI MU PURIGATORI @ MARY VICTO CATHOLIC COLLECTIONS YOUTUBE

SERENE - Soaking Christian Worship Songs | Prayer and Devotional

