Zungulu: N’ebisolo ebibeera ewa Besigye nabyo bikola "Defiance"

Kizuliiddwa nti oluvannyuma lwa Kizza Besigye okugunjaawo enkola ya Defiance buli muntu ssaako n’ebisolo ebibeera ewuwe nabyo bikola nga ye. Wiiki eno Ente yee yennyini Ganzi yamulemesezza okutuuka e Makerere mu budde okusondera abasomesa baayo ensimbi bakomewo basomese. Abasamize nabo kati batandiise okubuliira enjiri ya Bayibuli wabula nga agiwuliriza ggwe aziba amatu. For more news visit http://www.ntv.co.ug Follow us on Twitter   / ntvuganda   Like our Facebook page   / ntvuganda